Abavubi n’abasuubuzi b’empuuta bawagidde ekiragiro kya government eri abavuba mukene eky’okukozesa obutimba obumanyiddwa nga Kyoota, nti bwakuyambako okukendeeza ku buwuuta obuto obubadde bukwatibwa.
Etteeka lino likwata ku bavuba mukene bonna ku nnyanja Nalubaale,Muttanzige ne Edward.
Abavuba empuuta ku myalo egyenjawulo ku nnyanja ezo balumiriza abavuba Mukene okukozesa ebitimba obutwaliramu obuwuuta obuto.
Abavubi b’empuuta bagamba nti kino kivuddeko okuttattana omulimu gwabwe n’okubavumaganya.
Obutakanya buno okusinga buli ku myalo omuli Ggolo ogusagibwa mu district ye Mpigi, Kasekulo, Kaaya nga byonna biri mugombolola ye Mugoye, saako omwalo gwe Kigunggu Entebbe.
Wabula abavubi ba Mukene bagamba nti abavubi b’empuuta bandiba nga batandise kufuna kyekwaso olw’abasirikale b’ebyokwerinda ababatadde amaanyi okulwanyisa abavuba ebyenyanja ebito.
Omuvubi w’empuuta ku mwalo e Kigungu mu Entebbe, Bakaaki Robert nga atuula ne kakiiko keby’obuvubi mu East Africa ategezeza CBS nti bagala abavubi ba Mukene bakyuse ebitimba byebakozesa okuvuba, nti kubanga bitwaliramu obuwuuta obuto nebabafiiriza.
Wabula abasubuzi ba Mukene nga bakulembeddwamu Kabanda Shafiq, okuva ku mwalo e Bugoye babuulidde CBS nti kirabika abavubi be Mputta bagala kugoba bavubi ba Mukene kunyanja, kyoka bwekiba nga kyekigendererwa kyabwe sibakukkiriza kumalawo mulimu gwabwe.
Embeera eno yeemu eviiriddeko abalunzi b’enkoko nabo okusattira nti kuba Mukene gwebakozesa emmere gyebalisa enkoko zabwe, era singa olutalo lwongera okulanda kyandiviirako business yabwe eye Nkoko okufuna okusoomozebwa okutagambika.
Kevin Ssewakiryanga ,nga musuubuzi wa Mukene ate omulunzi w’enkoko agamba nti government erina okukwata ensonga eno, ng’ekolera wamu n’abavubi n’abasuubuzi, ereme kukosa balunzi ne business zabwe zonna okutwalira awamu.
Wabula CBS bwetukiridde omwogezi w’akakiiko ka State House akalwanyisa envumba embi aka Fisheries Protection Unit Lt.Lauben Ndifuula agambye nti bbo bakyasibidde ku biragiro ebyabaweebwa okubiteekesa mu nkola, eby’okulaba ng’ebyennyanja ebika byonna tebisaanawo.#