Police ngeri wamu nákakiiko kamaka ga president akalwanyisa enguzi aka Anti-Corruption Unit bakutte abakozi ba government ez’ebitundu 4 mu district ye Kasese, kigambibwa nti babadde benyigira mu bulyake nókudibaga ensimbi za government ezaabawebwa okuddukanya emirimu.
Abakwate kuliko akulira eby’ensimbi ku district e Kasese Margret Muhindo,eyali town clerk wa Mubuku town council Rughomya Robert Bithekera neyali omuwanika Hood Yusuf Ndungu, n’amyuka engineer wa district Laloba Robert.
Rughomya Robert Bithekera ne Hood Yusuf bakwatiddwa ku bigambibwa nti baakozesa bubi ssente za government ezisukka mu bukadde 50, ezaali ezokulakulanya town council ya Mubuku .
Muhindo Margret avunanyizibwa ku by’ensimbi yakwatiddwa nti yalemereddwa okulaga ensasanya ya ssente ezikunganyizibwa mu district, nókubulankanya sente zémisolo, nga yatuuka n’okusaawo account nga yagivunanyizibwako ne CAO bokka, era nga bebagirinako obuyinza obwenkomeredde.
Okusinzira ku kakiiko ka Anti-Corruption Unit, Engineer Lalobi Robert yakwatiddwa lwakubulankanya byuma bya government n’emmotoka za Wetiiye ezaalina okukola enguudo era ngábadde abitereka mu bitundu bya njawulo.
Abakulu ku kakiiko ka Anti-Corruption Unit bagamba nti ebikwekweto engeri enno bikyagenda maaso okwetolola district za Uganda zonna, okakasa nti emirimu gitambula bulungi era obuweereza butuuka ku bannauganda nga bwebalina okubufuna.
Bino webijidde ng’akakiiko kekamu nga kali ne minister Peter Ongwang avunanyizibwa kulonddola emirimu gya government, bakakwata abakozi ba district ye Wakiso abasukka mu 8, nabo bavunaanibwa kukozesa bubi wofiisi nóbulyake.
Bisakiddwa: Lubega Mudashiru