Olukiiko oluddukanya empaka z’amasaza ga Buganda ez’omupiira ogw’ebigere lulangiridde ensengeka y’ebibinja ez’empaka z’omwaka guno 2024, nga amasaza gonna 18 gasengekeddwa mu bibinja 3.
Ekibinja Bulange; muteeredwamu bannantemegwa b’empaka ezasembayo aba Bulemeezi, Buddu, Kyadondo, Buluuli, Butambala ne Bugerere.
Ekibinja Muganzirwazza; mulimu Gomba, Buweekula, Ssingo, Kyaggwe, Mawogola ne Kkooki.
Ekibinja Masengere mulimu Mawokota, Buvuma, Kabula, Busujju, Ssese ne Busiro.
Obululu bukwatiddwa ku bulange e Mengo mu lukiiko olwetabiddwamu abakulembeze ba ttiimu z’a masaza, olukiiko oluteesiteesi ne minister w’ebyemizannyo abavubuka n’ebitone Owek Ssalongo Robert Sserwanga.
Mu lukiiko luno abakulembeze ba ttiimu z’a masaza bakanyiza ku mateeka agagenda okuddukanya empaka z’omwaka guno, nga n’etteeka eribadde lissa ekkomo ku mazannyi abawezezza emyaka 4 ng’abazannyira amasaza okukoma awo ligyiddwawo.
Omuzannyi kati waddembe okuzannyira mu mpaka zino emyaka gyonna okuggyako abo ababeera baguliddwa club za babinywera.
Empaka z’amasaza ez’omwaka guno 2024 zigenda kutandika nga 22 June.
Bisakiddwa: Issah Kimbugwe