Obulabirizi bwe Namirembe, bulina eby’obulambuzi ebyenjawulo era buno bwebumu ku bulabirizi obwali businga obunene n’okubaamu abakulisitaayo abangi mu kkanisa ya Uganda.
Obulabirizi buno bulina obusaabadiikoni 6 okuli obwe Nateete, Kazo, Gayaza, Mengo, Entebbe ne Luzira era obulabirizi buno bugatta ettundutundu ku kibuga Kampala, district ye Kalangala ne Wakiso yonna.
Obulabirizi buno bukutuddwamu obulabirizi obulala 6 okuli Mukono, Luweero, Mityana, West Buganda, Kampala, ne Central Buganda.
Obulabirizi bwe Namirembe era bulimu obusumba 60 n’ekkanisa ezisoba mu 342.
Obulabirizi buno bulina ebifo eby’obulambuzi obuwerako ebiyamba klezia okufunamu ensimbi. Ebifo bino kuliko akasozi okutudde lutikko ya St Paul eya Namirembe cathedral ku kitebe ky’obulabirizi, ekijjukizo ky’abajulizi ekya Uganda Martyrs shrine, ekkadiyirizo ly’ebyafaayo ku bajulizi erya Uganda Martyrs Museum, ekkadiyirizo lye by’ediini erimanyiddwa nga Museum of religion erisangibwa mu busabadiikoni bwe Mengo Munyonyo eririmu ebikwata ku ddiini mu myaka 100 egiyise.
Ebirala mulimu ekkanisa y’abajulizi eya Martyrs church esangibwa e Busega, Empuku ya Alexandar Mackay n’ekifo ekyatuumibwa Musa Mukasa omu ku baawereza mu kkanisa abaakulemberamu okutumbula eddiini mu myaka gya Ssekabaka Mwanga ne Muteesa 1, nakyo ekisangibwa e Munyonyo.
Akulira ebyenjigiriza mu bulabirizi bwe Namirembe, Rev Nathan Mulondo, agamba nti ebifo byonna bijumbirwa okutwalibwamu abantu okubirambula n’okubisomako.
Rev. Mulondo agamba nti obulabirizi bukunganyamu ensimbi mu bintu ebyo ebyenjawulo okubuvujjirira nokubeezawo ebifo ebyenjawulo nga bitambula bulungi.
Bisakiddwa: Ddungu Davis