Obulabirizi bw’e Namirembe bukuzizza olunaku lw’okubuulira enjiri mu bulabirizi wonna, n’okufalaasira abakkiriza okukulemberamu olutalo lw’okulwanyisa enguzi n’okujivumirira.
Omulabirizi wa North Kigezi ow’omukaaga kitaffe mu Katonda Rt Rev Onesmus Asiimwe, yakulembeddemu okubuulira ku mikolo ejiyindidde mu bimuli by’obulabirizi e Namirembe wakati mu kire ky’enkuba.
Rt Rev Onesmus Asiimwe, agambye nti kyenyamiza nti ebitongole ebyenjawulo mu ggwanga enguzi ebisensedde nga ne mu masinzizo esembedde.
Alabudde banna Uganda obutakolokota nnyo bakulembeze bebafuna olw’ebyafaayo byabwe, wabula okukwatagana nabo okukyusa ensi.
Omulabirizi we Namirembe kitaffe mu Katonda, Moses Banja, asinzidde ku mikolo jino, naasaba abakwatibwako okulwanirira ekitiibwa kyabaana mu maka.
Agambye nti singa abaana bakulira mu maka agalimu okusojjogana, effuggabbi, enge, effutwa n’effubitizi n’obutawangana kitiibwa, abaana abo tebasobola kubeera na kwagala eri abalala era tebayinza kufaayo eri bantu balala.
Alabudde abawereza obuteegulumiza nnyo nga baliko webatuuse wabula okutuukiriza obuvunanyizibwa obubaweereddwa.
Bisakiddwa: Ddungu Davis