Ekkanisa yábadiventi mu Uganda eronze obukulembeze; obwóbulabirizi obuggya obwakatondebwawo.
Ekkanisa yábadiventi mu ttundutundu eryóbuvanjuba námasekkati ga Africa, yatondawo obulabirizi obulala bwa mirundi 4 mu Uganda, obwakakasibwa nti butuukirizza ebisaanyizo.
Kaakano Mu lusirika olwábakulembeze békkanisa yábadiventi mu Uganda, olutudde okumala ennaku kati 2 ku kitebe e Makerere, nga lukubirizibwa ssaabalabirizi Pr Dr.Moses Maka Ndimukika; lulonze abalabirizi, abawandiisi nábawanika bóbulabirizi obwo.
Omusumba Jeremiah Alisengawa; abadde omulabirizi wa Eastern Uganda Field akyusiddwa náleetebwa e Mukono, era nálondebwa ngómulabirizi wa East Buganda Field ngéno yétwala Mukono, Kayunga, Buikwe ne Buvuma.
Obulabirizi bwa Eastern Uganda Field omusumba ono gyábadde, bwakutuddwamu emirundi 3; ne muvaamu obwa Busoga, obwa Elgon nóbwa Mid-Eastern Uganda Field.
Mu mbeera eyo; Omusumba Ofwono Fredrick alondeddwa okukulembera Obulabirizi bwa Mid-Eastern Uganda Field, Omusumba Namunaka John yálondeddwa ngómulabirizi wa Elgon Field etwala ebitundu bya Masaaba, ate Omusumba Kajura Jimmy nálondebwa okukulembera Obulabirizi bwa Busoga Field.
Ate Omusumba Richard Rusoke, alondeddwa okukulembera obulabirizi bwa Mid-western Uganda Field, obutwala ebitundu byé Tooro.
Olusirika luno lwetabiddwamu ne ba Ssaabalabirizi abaawummula, okuli Pr Dr John Benon Dancun Kakembo Ssensalire, ne Pr Christian Aliddeki.
Bisakiddwa: Joshua Musaasizi Nsubuga