Banka z’ebyobusuubuzi ez’amawanga ga Bulaaya zongedde okuwagira enteekateeka y’okubunyisa amayengo ga Internet mu masoso g’ebyalo bya Uganda ziwaddeyo Obukadde bwa Euro 40 okuzimba emirongooti gy’ebyempuliziganya 506 mu bitundu ebyenjawulo.
Ensimbi zino zakuyisibwa mu kitongole ki TowerCo of Africa Uganda, nga gigenda kubeera ku maanyi ga 4G ne 5G ezanguya emisinde Internet kwetambulira mu nsi yonna.
Ezimu ku bank eziwomye omutwe mu ntekateeka eno kuliko European Investment Bank, Development Bank of Austria ne Belgian Investment Company for Developing Countries.
Mu ndagaaano eyakolebwa government ya Uganda n’emikutu gy’ebyempuliziganya, kyasalibwawo nti buli Mulongooti ogunayimirira gwaakukozesebwa kampuni z’ebyempuliziganya zonna, okusobozesa bannansi okufuna amayengo amalungi.
Mu kiseera kino banna Uganda ebitundu 65% bebalina essiimu za seereza, nga waliwo essuubi nti mu myaka 10 Internet mu Uganda ejjakuba ebunye wakiri ebitundu 95%.
Geoffrey Donnels Oketayot, ssenkulu wa kampuni ya TowerCo of Africa Uganda egenda okuzimba emirongooti agambye nti enteekateeka eno yakukyuusa kinene nnyo ku byempuliziganya mu ggwanga, n’okulwanyisa ebbula ly’ emirimu mu bavubuka.
Amyuka president wa European Investment Bank Thomas Ostros, agambye nti okuzimba emirongooti kuno kwakukolebwa mu myaka 2 gyokka, nga abavubuka 2000 n’Omusobyo bebagenda okufuna emirimu gy’Ekikugu neegitali.
Bisakiddwa: Kato Denis