
Bannakibiina kya NRM betaaga obuwumbi bwa shilling busatu (shs 3b) okwebuuza ku bannansi, n’okuku𝝶aanya emikono egisemba okutegeka akalulu k’ekikungo okukyusa enkola y’okulonda president wa Uganda n’ennongosereza endala.
Enteekateeka eno yawomwamu omutwe banna NRM abegattira mukago ogwa Transformers Cadres Association Uganda,nga muno okusinga mwegattiramu bannaNRM abaali besimbawo mu kalulu akaggwa aka 2021 nebagwa.
Akakiiko k’eby’okulonda kaabawadde olukusa okugenda nga batalaaga ebitundu by’eggwanga byonna, okuku𝝶aanya ebirowoozo n’emikono ejisemba okutegeka akalulu k’ekikungo okusalawo ku ky’okussaawo ennongosereza ezo.
Ebimu ku biteeso ebyetaagisa akalulu ak’ekikungo, kwekuba nti president w’eggwanga alondebwa parliament sso ssi bannauganda bonna, okuzzaawo ebisanja bya president,okuteekawo parliament ey’okubiri emanyiddwa nga Senate, okuteekawo enfuga eya Regional Tier, okukozesa ebyuma bya biometric machines mu kulonda kwonna n’ebirala.
Felix Adupa Ongwech, akulira bannakibiina kya NRM abagenda okukulemberamu enteekateeka eno, agamba nti bakutandikira mu district eziri mu bendobendo lye Busoga, badde e Bukedi, Elgon, Sebei, Teso, Karamoja, n’ebitundu ebirala nga bakuwunzikira Mubende ne Luweero.
Kemirembe Ronah ayogerera omukago gwa NRM transformer Cadres Association Uganda, agamba nti ssemateeka wa Uganda ennyingo eye 74 akawayiro 3, kabawa ekiseera ekyokukoleramu enteekateeka eno.
Kino kirina okukolebwa mu mwaka ogwokuna ogwekisanja ky’ababaka aba parliament, era nti bakutandika mangu ddala, 2025 egende okutuuka ng’ebyetaagisa byonna biwedde.