Bya Davis Ddungu
Ministry y’eby’obulamu mu Uganda n’ekitongole kya America ekivujjirira eby’obulamu ekya USAID, batongozza kawefube atuumiddwa “Time Up HIV”, agendereddemu okulwanyisa siriimu n’okutema empenda ezinayamba Uganda okutuuka ku birooto byayo ebyokumalawo siriimu ng’omwaka gwa 2030 tegunayita.
Kawefube ono agendereddemu okulaga abantu nti akadde kaweddeyo okutuukiriza ekirooto bya Uganda byeyeyama okuteekesa mu nkola.
Wasigaddeyo kati emyaka 8 gyokka okutuuka mu 2030, ssonga esigadde emyaka 3 gyokka okutuuka kukirooto kya 2025 ekyokulwanyisa siriimu wakiri ebitundu 95%.
Ministry y’eby’obulamu egamba nti obulwadde bwa siriimu mu Uganda bukendeddeko okutuuka ku bitundu 5.4% okuva ku bitundu 6.2%, ssonga n’omuwendo gw’abafa ekirwadde kino gukendeddeko n’ebitundu 60%.
Abantu abakwatibwa akawuka buli mwaka omuwendo gukendeddeko okuva ku bantu 53,000 buli mwaka okudda ku bantu 38,000.
Minister w’ebyobulamu, Dr Jane Ruth Acheng abadde ku kitebe kya ministry y’eby’obulamu e Wandegeya mu Kampala enkya y’aleero nalabula nti newankubade obulwadde bukendeddeko banna Uganda tebasaanye kweyibaala.
Annyonyodde nti Uganda y’emu ku mawanga agasoose mu Africa okulwanyisa akawuka ka mukenenya, okutuuka okukakendeeza n’ebitundu 90%, abantu bamanyi bwebayimiridde, abali ku ddagala nabo bamanyi emisinde akawuka kwekasaasaanira mu mibiri gyabwe.
Omukungu amyuka avunanyizibwa ku by’obulamu mu kitongole kya USAID, Aleathea Musah, agamba nti gavumenti etadde nnyo essira kukulwanyisa Covid 19 neragajjalira endwadde endala naddala eya Mukenenya.