Obubondo bw’ababaka ba parliament ya Uganda butuula bufoofo, okusalawo abantu bebanaasimbawo okuvuganya ku kifo kya sipiika wa parliament addako.
Ababaka babiri okuva ku ludda oluwabula government mu Parliament okuli owa Kira municipality Ibrahim Ssemujju Nganda munnaFDC, n’omubaka wa Bugiri municipality Asuman Basaalirwa owa JEEMA, beesowoddeyo okuvuganya ku kifo kya sipiika, okudda mu bigere bya Jacob Oulanya eyafiira mu America.
Bagamba nti balinze oludda oluvuganya government lubawandeko eddusu.
Asuman Basalirwa agambye nti wabula singa anaaba siyalondeddwa, wakuwagira yenna oludda oluvuganya gwerunalondako.
Olukiiko lwaba minister ku ludda oluvuganya gavument enkya yaleero lutudde ,songa olunaku olwenkya akabondo kababaka ba NUP bakutuula, olwo kulwokuna lwa wiiki eno ,ababaka booludda oluvuganya gavument batuule basalewo ku muntu gwebanaasimbawo ku kifo kya sipiika oba n’omumyuka
Ssemujju Ibrahim mu kulonda kwa sipiika okwayita mu 2021, yeesimbaawo ku bwa sipiika naafunayo obululu 15 bwokka,wadde oludda oluvuganya government lulina ababaka 109, songa FDC erina ababaka 32 .
Wabula Ssemujju agambye nti kwolwo yesimbawo kubanga tewaali waludda luvuganya yali yesowoddeyo kwesimbawo, naye ku mulundi guno kakitegedde nti Asuman Basaalirwa yesimbyewo mwetegefu okumuwagira era yagenda okukulemberamu kakuyege we.
Ssemateeka weggwanga ennyingo 82 akatundu 4 ,ekugira omulimu gwonna okukolebwa mu palament ng’ekifo Kya sipiika tekinajjuzibwa
Olwaleero ababaka bannakibiina Kya Nrm abeeyagaliza ekifo Kyobwa sipiika lwebagyayo nokuzaayo empapula eri akakiiko kekibiina kino ekya Nrm
Mu ngeri y’emu, Amyuka sipiika Anita Among owa NRM mu kiseera kino yeyakaggyayo empapula ku kitebe ky’ekibiina kyabwe ku Kyadondo road, okuvuganya ku kifo kya sipiika.
Anita y’abadde akubiriza parliament ng’awezezza entuula 70 bukyanga alondebwa ng’omumyuka, olwa mukama we abadde omukosefukosefu okuva lweyalondebwa nga 24 may,2021.
Anita Among mu kuggyayo empapula ku wofiisi za NRM okwesimbawo ku kifo kya sipiika, atumye muyambi we.
Amuweererezaako ebbaluwa eraze nti abadde mukosefukosefu.
Jacob Oboth Oboth minister omubeezi ow’ebyokwerinda era omubaka wa West Budama Central naye ekifo kino akyagala, era yeesowoddeyo dda.
Olunaku lw’enkya olw’okusatu akakiiko akokuntikko aka NRM lwekagenda okutuula okwogera ku nsonga z’okulonda sipiika, ate ku lw’okuna akabondo k’ababaka ba NRM katuule ku nsonga yeemu nga kakubirizibwa ssentebe w’ekibiina era omukulembeze w’eggwanga Yoweri Kaguta Museven Tibuhaburwa.
Akabondo k’ababaka abava mu bukiika kkono bw’eggwanga batuula leero, okwogera ku nsonga z’okujjuza ekifo kino.Wabula bano olunaku olweggulo baalabudde nti ekifo engeri gyekyabaddemu munaabwe Jacob Oulanyah ava mu Acholi baagala era omusikawe ave mu bukiika kkono bw’eggwanga.
Kalaani wa parliament Adolf Mwesigye avunaanyizibwa ku by’emirimu, ,mu kiwandiiko ekitongole kyaweereza ababaka bonna agambye nti olutuula lwokulonda sipiika addako lwakutandika ku saawa nnya ezokumakya nga 25 march, 2022, mu kisaawe kyameefuga e Kololo.