Abantu 5 bafudde mu kabenje akaguddewo mu kiro ekikeesezza leero mu district ye Mbarara.
Abafudde batuuze mu ggombolola ye Lwamaggwa mu district ye Rakai
Kubaddeko omukubiriza w’olukiiko lw’eggombolola ye Lwamaggwa Kanyigana George, abalala abafudde abatanategerekeka mannya Kuliko Driver we, Muganda we Maama we, n’omutuuze omulala.
Teddy Nayimba, yali mukiise ku lukiiko lw’eggombolola ye Lwamaggwa ategezezza nti emirambo gy’abafudde gikyali mu ggwanika ly’e ddwaliro ly’e Mbarara.
Mu ngeri yeemu Ebyentambula bisanyaladde ku bitaala e Kabuusu mu division ye Lubagamu Kampala ,mmotoka ebadde yetisse obumondde kika kya Fuso namba UAW 545P eremeredde omugoba waayo netomera owa boda boda nemuttirawo abalala basigadde n’ebisago.
Kigambibwa nti mmotoka eno eganye okusiba kwekuyingirira abantu ababaddewo.#