Bya Kato Denis
Abantu bataano bakwatiddwa okuyambako police mu kunoonyereza ku bubbi bwa mmotoka obweyongedde mu Kampala nébitundu byéggwanga ebirala. Abakwatiddwa bakuumibwa ku police ya CPS mu Kampala. Mmotoka mukaaga ezaali zabbibwa zizuuliddwa mu wiiki emu mu Kampala. Kuliko UAQ 251/P Surf esangiddwa mu E Bright parking yard e Lugala, UAJ 086/J esangiddwa ku Mapeera House e Kosovo, UBA 592 Super Custome yasangiddwa Lugala ku Kavuma Parking yard, UAZ585/E Prado yasangiddwa mu Jordan Car wash parking e Lugala,ne UAP 796/A Toyota Noah yasangiddwa Nakawuka. Okunoonyereza okukoleddwa police erwanyisa ababbisa emmundu kulaze nti ebifo omusimbibwa mmotoka mu budde obwekiro n’emisana ebitundu 70% mu Kampala bisimbibwaamu némmotoka enzibe. Mmotoka zino zitambuzibwa mu budde bwakiro , olwo ebyuma ebijibwamu nebitundibwa wabweru wa Uganda mu mawanga omuli Sudan ne Congo, Amyuka omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano Luke Oweyisigire ategeezezza CBS nti Police eriko obubondo bwábabbi bémmotoka bano bwekyekennenya, nérabula nábannyini mmotoka okwerinda abantu ababalondoola nga batambulira ku pikipiki. Bino webijjidde nga okunoonyereza kwa police kumaze okulaga nti ebitundu omuli Lugala , Kosovo, Nansana , Namungoona ne Lungujja mwongedde okumerukamu ebifo awakanikibwa mmotoka. |