Obwakabaka bwa Buganda, abakulembeze mu ddini y’obusiraamu bakungubagidde eyali omubaka wa Makindye West Hajji Hussein Kyanjo mukama katonda gwajjuludde mu bulamu bwensi, bamwogeddeko ng’abadde musajja wa Kabaka atamutiiririra, omwesimbu ate ng’ayagala nnyo eddiini ye.
Hajji Hussein Kyanjo afiiridde mu ddwaliro Kibuli nga 22 July,2023 ku myaka 63 egy’obukulu.

Omumyuka asooka owa Katikkiro wa Buganda owek Prof Hajji Twaha Kigongo Kawaase bwabadde yetabye mu kusaalira omugenzi ku muzikiti e Kibuli, ayogedde ku mugenzi ng’abadde ow’amazima ate omwesimbu eri eggwanga lye Buganda ne Uganda okutwaliza awamu.

Jjaja w’obusiraamu omulangira Kassim Nakibinge Kakungulu Mbuga ayogedde ku mugenzi ng’abadde ayogera ekimuli ku mutima nga ate kyayogera kyakkiririzaamu.
Supreme mufti wa Uganda Sheikh Muhammad Shaban Galabuzi agambye nti obusiraamu bufiiriddwa omukulembeze omwesimbu, naasomooza banna byabufuzi okulabira ku Hajji Kyanjo.
President wa JEEMA Hajji Asuman Basalirwa ayogedde ku mugenzi ng’abadde takwenyakwenya mu ntambuza y’obulamu bwe.
Akulira ddaawa e Kibuli Sheikh Yasin Kiweewa ayogedde ku mugenzi ng’abadde omwesimbu eri eddiini ye ey’obusiraamu.
Abakulu ku Kasozi e Kibuli bagamba nti Hajji Hussein Kyanjo abadde kyakulabirako,era etoofali lye ku busiramu ne ggwanga lyonna telibusibwabusibwa, ne basaba katonda amuwe ekiwumulo eky’emirembe.
Omwogezi w’obusiraamu e Kibuli Dr. Muhammed Kiggundu agambye nti obukulembeze bwa Hajji Kyanjo ng’omubaka wa Parliament wa Makindye West bwegombesa abantu bangi okufuuka ababaka olwengeri gyeyalambikangamu ensonga ze, obwerufu n’okulemeranga ku nsonga ezigasa eggwanga lyonna.
Sipiika wa Parliament Anita Annet Among mu bubaka bwe, obukungubagira Kyanjo agambye nti Hajji Hussein Kyanjo yasima omusingi omugumu eri bannabyabufuzi bangi abafuuse ensonga mu ggwanga lino.
Agambye nti Hajji Hussein Kyanjo alese omukululo mu byobufuzi omunene ddala mu bbanga lyeyamala ku bubaka bwa parliament , omulimu gweyakola mu bwesimbu n’obwerufu.
Hajji Hussein Kyanjo mu parliament yaliyo ebisanja 2 okuli parliament eyo 8 wakati wa 2006/2011 ne parliament eyo 9 mu 2011/2016, era yali.
Kyanjo yali mubaka enjasabiggu eyayogeranga ensonga eziruma eggwanga nga teyeetiiriridde.
Akulira Oludda oluvuganya gavument mu parliament Owek. Mathias Mpuuga Nsamba agambye nti eggwanga lyakussubwa nnyo omussomesa w’ebyobufuzi, gwagambye nti yoomu kubaamulela mu byobufuzi byalimu n’okutuusa olwaleero.
Mpuuga atenderezza hajji Hussein Kyanjo olw’okuzannya ebyobufuzi ebyekisajja kikulu era eby’obwerufu ebbanga lye lyonna ly’amaze mu byobufuzi.
Hajji Hussein afiiridde mu ddwaliro e Kibuli , oluvanyuma lw’ebbanga ng’atawanyiizibwa ebirwadde ebyenjawulo,nga wafiiridde abadde ayogerera ku byuma.
Kyanjo yazaalibwa mu 1960 okutuuka mu 2023 afiiridde ku myaka 62.
Agenda kuziikibwa e Ntuuma Bukomansimbi#