Obubaka bw’ekisiibo okuva ewa Rev Fr. Peter Bukya.
Tunyweze omukwano gwaffe ne Katonda.
Omukama mu budde buno, atusaba buli lunaku okunyweza omukwano gwaffe ne nkolagana yaffe naye.
Okusingira ddala nga twegayirira nnyo, Omukama Ayagala bulijjo okufunayo akadde akeekusifu, tubeereko naye mu ssaala, nga ssekinnoomu, ng’amaka oba ne mukwano gyo.
Twebuulirireko nga tusoma ku kitabo Ekitukuvu, ne ssapule, ate twongere okulongoosa obulamu bwaffe obw’omwoyo mu bigambo byaffe ne mu bikolwa byaffe.#