Ettendekero ly’abasesolodooti erya St Joseph’s Seminary Nyenga mu district y’eBuikwe, lijjaguzza emyaka 100 beddu bukya etandikibwawo.
Nyenga Seminary yatandikibwawo abaminsani aba Mill hill fathers mu mwaka 1924.
Ebijjaguzo bitandise n’ekitambiro kya missa ekulrmbeddwamu omubaka wa paapa mu Uganda Ssabasumba Luigi Bianco.
Abepisikoopi bangi nabo betabye ku bikujjuko bino okuli omusumba w’essaza ly’eLugazi Christopher Kakooza ,Bishop Mathias Ssekamaanya omusumba we Lugazi eyawummula,Ssabasumba Paul Ssemogerere ow’essaza ekkulu ery’eKampala , Ssaabasumba Augustine Kasujja yawummula, Bishop Anthony Zziwa owa Kiyinda Mityana Serverus Jjumba ow’eMasaka, Dominic Eibu omusumba we Kotido, nabalala.
St Joseph’s Seminary Nyenga esomeddemu abakulu bangi mu ggwanga omuli eyali ssabasumba w’essaza ekulu ery’ekampala kati omungenzi Cyprian Kizito Lwanga, eyali ssabasumba w’e ssaza ly’eGulu Bishop Odongo, minister omubeezi ow’ebyenjigiriza ebya waggulu John Chrysestom Muyingo , Col Mudoola n’abalala.
Ssentebe w’abaasomerako mu seminaaliyo eno Robert Kintu Julius Muwema agambye nti emyaka 100 egya Nyenga Seminary gyakwenyumirizaamu nnyo, olw’okutendeka abantu ab’omuwendo eri eggwanga era abakoze ebintu eby’ensonga eri eggwanga n’ensi yonna.
Bisakiddwa: Ssebwami Denis