Ekibiina kya National Unity Platform kyanirizza ba memba abaggya omuli n’eyaliko ssentebe wa district ye Masaka Jude Mbabaali avudde mu DP.
Abalala bavudde mu bukiika kkono bwa Uganda, abavudde mu NRM ne FDC, era bakwasiddwa kaada za NUP ku mukolo ogubadde ku kitebe ky’ekibiina ku Kavule Makerere mu Kampala.
President w’ekibiina kya NUP Robert Kyagulanyi Ssentamu alabudde abegase ku kibiina kino nti balina okukimanya nti ekibiina kyebayingidde sikyakwekukumamu okinoonyezaako ebifo by’obukulembeze wabula bagala buyinza era nti tebageza nebakizanyiramu.
Kyagulanyi agambye nti mu kalulu akaggwa aka 2021 waliwo abantu bangi abegatta ku NUP n’ekigendererwa ky’okufuna kaada n’obululu, nti wabula bwebaamala okuwangula, nebatandika okweyisa nga bwebaagala.#