President w’ekibiina kya NUP Robert Kyagulanyi Ssentamu Bobi wine alabudde bannakibiina okubeera abegendereza oluvannyuma lwa police okuyisa ebiragiro ebiyimiriza enkungaana zabwe, bandiba n’ekigendererwa eky’okubakwata basibwe mu makomera.
Kyagulanyi abadde ku kitebe kya NUP e Kamwokya nagamba nti ebiragiro bino bigendereddemu kubafuula bakozi bafujjo so nga tebalyenyigiramu, era enkungaana zabwe zonna ziwedde mu mirembe.
Kyagulanyi agambye nti wadde nga tebagenda kugondera biragiro ebyabayisiddwako nti kubanga bimenya mateeka era n’okukugira ekibiina ekiriwo mu mateeka okutuukiriza ebigendererwa byakyo, naye era banna kibiina balina okubeera abegendereza nti kubanga kati abebyokwerinda bagala kubaako nabebakwata.
Agambye nti ebiragiro ebyengeri eyo byoleka lwatu, nti ebitongole by’okwerinda birina kyekubiira mu nkola yabyo ey’emirimu.
Agambye nti tewali nsonga nambulukufu ebaweereddwa police kweyasinzidde okuwera enkungaana zabwe, era n’ategeeza nti bagenda kutegeka ekitundu ekiddako eky’okulambula ebitundu ebirala era nti nga bagoberera amateeka n’okukuuma emirembe nga bwegwabadde mu kitundu ekyasoose.
Baasookera Mbarara,Kabale, Fortportal,Mayuge,Busia,Mbale,Lira,Luweero,Hoima ne Arua.
Wabula Police ya Uganda bweyabadde ewera enkungaana za NUP, mu kiwandiiko ekyassiddwako omukono gw’omumyuka wa ssaabapolice Katsigazi yagambye nti ebigambo bya Kyagulanyi byabadde ayogerera mu nkungaana zakubye bibadde bikaawu, mubaddeko okwonoona ebintu naddaka okwasa emmotoka z’abalala, obubenje, okuzingamya emirimu gy’abantu n’ebirala.#