Police eyimirizza ekibiina kya NUP okukuba enkugaana mu bibuga,era nebalagira bakyuuse ebifo byonna mwebabadde balina okukuba enkungaana zabwe mu kutalaaga eggwanga kwebaliko.
Bino byabadde mu nsisinkano police gyebabademu n’obukulembeze bw’ekibiina kya NUP oluvanyuma lw’okusika omuguwa okubaddewo ng’ebalemesa okukuba enkungaana.
Okusinziira kw’akulira oludda oluvuganya government mu parliament era omwogezi w’ekibiina Joel Ssennyonyi, agambye nti police yabalagidde enkungaana zonna zebabadde bakuba okuliraana ebibuga bazongereyo ewala n’ebibuga era nabo nebakkiriziganya nakyo.
Mu nteekateeka eno, Olukungaana olubadde lulina okubeera ku Liberation Square e Masaka lugyiddwayo nga kati bakufuna ekifo ekipya,nga n’olukungaana olubadde lulina okubeera e Mukono olwaleero nalwo lugyiddwawo olw’ebiragiro ebyabawereddwa police, lwakubeerayo enkya nga 29 May,2024 mu kifo ekitanamanyibwa.
Ssenyonyi agambye nti wadde nga babadde basasula ebifo mwebalina okukungaanira ,naye tekigenda kubayigula ttama bakusigala nga banoonya ebifo ebiggya mwebalina okukuba enkungaana.
Ssenyonyi mungeri yemu agambye police yabadde yemulugunya nti ekibiina kino tekibawandiikira bbaluwa nga bagenda mu nkungaana zino,nekireetawo obutakwatagana.
Wabula agambye nti ebbaluwa zabwe ng’ekibiina wandiba nga waliwo abazeezibika ku police, nti mubanga babadde baziwandiika.
Omwogezi wa Police Fred Enanga agamba nti enkungaana ezikubibwa mu bibuga zitaataaganya emirimu gy’abantu abalala, omuli n’okwonoona ebintu byabwe.
Bisakiddwa: Sharif Lukenge