Ekibiina kya National Unity Platform kijjukidde abantu abasoba mu 50 abaattibwa nga 18 ne 19 November,2020.
Abantu bano baakubwa amasasi mu bitundu ebyenjawulo mu Kampala, mu bwegugungo obwabalukawo mu ggwanga president wa NUP Robert Kyagulanyi eyali avuganya ku kifo kya president w’eggwanga, police bweyamukwata mu district ye Luuka olw’okukuba olukungaana olw’abantu abangi ng’egamba nti lwali luyinza okuviirako abantu okukwatibwa Covid 19.
Robert Kyagulanyi Ssentamu abadde mu kitebe ky’ekibiina e Kamwokya alabudde ababaka ba parliament nti tebageza nebava ku mulamwa gw’okubanja abantu abazze bawambibwa nebabuzibwawo ,n’okulwanirira abantu abaattibwa nga 18 ne 19 November, 2020.
Kyagulanyi agambye nti waliwo banna byabufuzi abasaagira mu nsonga z’abantu abaafa n’abo ababuzibwawo agambye nti bano basaanye bakikomye kubanga obudde bwonna nabo kijja kukonkona ku miryango gyabwe
Kyagulanyi wano wasinzidde nalabula abakulembeze abalya munsi yabwe olukwe nga bagulibwa ensimbi okwekkusa nebeerabira ababalonda
Alabudde ne family eziwambibwako abantu baazo nebagulirirwa n’ensimbi nti bagaane okwogera mu mawulire nti abantu babwe baabula, agambye nti ensimbi ezo zebalya zija kubalakira,wabula nabasaba balwanirire obwenkanya bw’abantu babwe.
Ssabawandiisi w’ekibiina kya NUP David Lewis Rubongoya agambye nti ekibiina kikola buli ekisoboka okuyambako family z’abawambibwa naye obwenkanya bukyabuze.
Bbo abantu abaafiirwako ababwe nga 18 ne 19 naabo ababuzibwako ,kwosa abaali babuzibwawo nebadamu okulabika bagamba nti ennaku ebayonka butaaba, olw’okwewuuba mu bitongole ebyenjawulo nga bakozesa obusente bwonna bwebalinawo naye tebanafuna bwenkanya.#