President w’ekibiina kya NUP Robert Kyagulanyi Ssentamu Bobi wine avumiridde eky’abakuuma ddembe okusooka okubalemesa entekateeka zabwe nti ebintu byebakola nga abakuuma ddembe tebiri mu mateeka
Wabula labudde ne banna kibiina kya NUP abalowooza nti bwebaguddewo ekitebe olwo batuule balatte, agambye nti olugendo lwe nkyukakyuka lukyali luwanvu.
Omukulembeze w’ekisinde kye by’obufuzi ekya Peoples Front For Transition Rtd. Col Kizza Besigye Kifefe era nga yoomu ku baatandika FDC, alabudde banna byabufuzi ku ludda oluvuganya government okukomya omulugube ng’agamba nti gwegukyasibidde banna Uganda mu buwambe.
Besigye agambye nti ekibiina ekiri mu buyinza kiyita mu kakodyo akokuwa banna byabufuzi abajivuganya ensimbi ezibakyusa obwongo, batabuletabule oludda oluvuganya.
Besigye agambye nti singa abantu abawebwa ensimbi sm tebaddemu mutima gwagala nsi yabwe banna Uganda bakyabonabona nnyo.
Alabudde abayita bannaabwe bambega mu bibiina by’obufuzi nti abo bebabitamizza abandibadde ku mulamwa.
Besigye mu ngeri yeemu atenderezza NUP ng’ekibiina ekikyali ekito kya myaka 3 gyokka, wabula kitaddewo essuulya empya esomoozezza ebibiina ebirala ebyakamala emyaka egiwera.
Akulira oludda oluwabula government mu Parliament Owek Mathias Mpuuga Nsamba asinzidde ku mukolo ogw’okuggulawo ekitebe ekipya nategeeza nti bo nga ababaka ba palamenti tebagenda kuva ku mulamwa gwakubanja bawagizi babwe baagamba nti baawambibwa government ya NRM.
Ebibiina byobufuzi ebivuganya government okuli PPP,JEEAM,ne FDC byonna bikiikiriddwa ku mukolo guno.
Omukolo guno gwabadde gwakubaawo nga 02 November,2023 wabula abasirikale nebagulemesa, oluvannyuma lw’okufuna ebiragiro nti president Museven naye yabadde wakuyita mu kitundu ekyo ekyabadde kiyinza okutaataaganya entambulaze.#