Kampuni ezaapatana omulimu gw’okukola number plate za mmotoka ne pikipiki mu Uganda okuli eya GM Tumpeco ne ginaayo eya ABC limited kyaddaaki zituusizza namba plate za mmotoka emitwaalo 80,000, oluvannyuma lw’okumala wiiki 2 nga bannauganda ababadde bagala okufuna namba empya nga tebazifuna.
Ebbula lya number plate za mmotoka mu ggwanga libadde liviiriddeko abasuubuzi n’abatunzi ba mmotoka okuyimiriza emirimu, ekifiirizza government ensimbi.
Ssenkulu wa GM Tumpeco Elvis Ssekyanzi Wavamunno ategeezezza nti ebbula lya namba plate mu ggwanga lyava ku contract zabwe okubeera mu lusuubo, olw’enteekateeka za government okuyimiriza number plate enkadde neragira Endigito zitandike okukola mu ggwanga.
Ssekyanzi annyonnyodde nti bazzeemu okufulumya number plate enkadde,era nga baleetako ntonotono okutaakiriza embeera eriwo, kyokka naasaba nti number plate zino bwezinaaba zikyetaagisa okufulumizibwa nga government bwetereeza ebya namba Endigito, bategeezebweko ng’obudde bukyali abasuubuzi ne government baleme kufiirizibwa.
Government yasalawo nti omwezi gwa October w’egunaatuukira pikipiki zonna zibeere nga ziteekeddwako enamba endigito, ate emmotoka nsalesale wa December, 2024.
Wabula gyebuvuddeko minister w’ebyokwerinda Jim Muhwezi yategeeza president wa Uganda Yoweri Kaguta Museven Tibuhaburwa nti enteekateeka z’okuleeta enamba endigito kugenda mu maaso, era omwaka wegunagwerako nga buli kimu kiwedde.
Ssentebe w’abasuubuzi ba mmotoka mu Uganda Charles Kaamunvi, ategeezezza nti mu bbanga erya wiiki ebbiri ng’eggwanga teririna Number Plate ku mmotoka empya kiviiriddeko emirimu mingi okugotaana, songa n’ensimbi nnyingi zifiiriddwa, era nasaba government enkola y’okuleeta enamba empya eteekebweteekebwe bulungi okwewala embeera eno okuddamu
Bisakiddwa: Kato Denis