Ekitongole ekivunanyizibwa ku nsimbi z’ekittavu ky’abakozi ekya NSSF, kikakasizza nti ensimbi zabwe zebaterekayo, ziri gguluggulu wadde wabaddewo okusoomozebwa okwenjawulo mu nzirukanya y’ekitongole.
Abakulu mu kitongole kya NSSF, bannyonyodde nti ekittavu tekinaba kusanga kusoomozebwa kwonna mu byensimbi, wabula nti kyongedde okukola bulungi mu bbanga ery’emyezi 6 egiyise.
Kikuze okuva ku bitundu 17% okutuuka ku bitundu 22%.
Patrick Ayota akolanga ssenkulu wa NSSF annyonyodde nti ekittavvu kyongedde okukunganya ensimbi okuva ku buwumbi 643 okutuuka ku buwumbi 786 mu myezi 6 ejiyise.
NSSF kati eweza ensimbi trillion emu n’obuwumbi 54 okuva ku buwumbi 900 zekyalina omwaka oguwedde.
Ayota era nnyonyodde nti ekittavvu kyongedde okufuna ba memba, nga mu myezi omukaaga, baawandiisizza abakozesa abaggya abawera 2,078 naabakozi ba memba 67,277 ekiretedde ekittavvu okuweza trillion 17 n’obuwumbi 880.
Agambye nti abakozi abasoba mu mitwalo 27,000 bebakaganyulwa mu nsimbi zabwe, mu ttteeka epya erya midterm income, nga obuwumbi obusoba mu 600 zezaakabaweebwa.
Bisakiddwa: Ddungu Davis