Ekitongole ekitereka ensimbi z’abakozi ekya National Social Security Fund (NSSF) kirangiridde amagoba ga bitundu 10% agagenda okuwebwa bamemba abatereka mu kittavu kino, zebagenda okugabana mu mwaka gw’ebyensimbi guno ogwa 2022.
Minister w’ebyensimbi n’okuteekerateekera eggwanga Matia Kasaija yalangiridde amagoba gano, ku mukolo ogubadde ku Serena Hotel mu Kampala.
Amangu ddala nga minister y’akalangirira, NSSF eweerezza obubaka ku ssimu z’abakozi bonna abatereka sente mu kittavu kino okumanya amagoba gebafunye ag’ebitundu 10% ku nsimbi buli omu zaalinayo.
Amagoba agagabanyiziddwako abakozi gaweza trillion 1 n’obuwumbi 590.
Peter Kimbowa ssentebe wa NSSF agambye nti baali basuubira amagoba okulinnya okusingako wano, wabula embeera y’ebyenfuna etanatambula bulungi mu ggwanga n’ensi yonna bikosezza emirimu gy’ekitongole.#