Okukiiko lwa boodi y’Ekittavvu ky’abakozi ki National Social Security Fund (NSSF) oluggya lulondeddwa, nerusabwa Okwongera okunyweeza obweerufu mu buweereza eri abakozi bonna.
Abalondeddwa ku Lukiiko luno kuliko Dr. David Ogong Ssentebe wa boodi ya NSSF nga azze mu bigere bya Dr Peter Kimbowa, omutesiteesi omukulu mu ministry yebyensimbi Ramathan Ggoobi memba, nga azze mu bigere bya Patrick Ocailap.
Mu balala Richard Bigirwa alondeddwa okukiikirira abakozi azze mu bigere bya Lwabayi Mudiba Hassan, Aggrey David Kibenge naye ku Lukiiko luno kwali, akiikirira ministry y’ekikula kyabantu, songa Dr. Eng Silver Mugisha ne Annet Mulindwa Nakawunde bazziddwa ku boodi eno, nga nabo bakiikirira omukago gw’Abakozi.
Dr Sam Ryomoki ne Peninah Tukamweaiga Nyabo balondeddwa ku boodi Eno, okukiikirira abakozi wansi w’Omukago ogwa COFTU ne NOTU.
Ssenkulu wa NSSF Patrick Ayota, waakusigala nga aweerereza ku boodi Eno nga Executive member.
Bwabadde atongoza boodi no ku Serena Hotel mu Kampala,minister w’ekikula kyabantu Betty Amongi ,ategeezezza nti bannansi betaaga obuweereza obwenjawulo era obutaliimu kyekubiira yenna.
Minister Amongi ategeezezza nti mu buweereza buno amateeka agafuga ekittavvu Galina okugobererwa, olwo bannansi baganyulwe mu nsimbi zebatereka.
Bisakiddwa: Kato Denis