Ekibiina kya National Resistance Movement NRM kiwaddeyo obukadde bwa shs 30 mu nteekateeka z’embaga ya Kyabazinga Gabula Nadiope IV, egenda okubeerawo nga 18 November,2023 e Bugembe mu Busoga.
Ensimbi zetikkiddwa Ssabawandisi wa NRM Richard Todwong , omuwanika wa NRM Nekesa Barbra Owundo ne Ssaabakunzi Rosemary Nasubuga Senninde.
Bazikwasizza Katuukiro wa Busoga Dr. Joseph Muvawala ku mukolo oguyindidde ku Sheraton Hotel mu Kampala.#