Emitwalo n’emitwalo gy’abantu abavudde mu mawanga ag’enjawulo bakyeyiwa mu klezia ya St.Peter’s Basilica e Vatican, okukuba eriiso evvanyuma ku mubiri gw’omugenzi paapa Benedixt XVI.
Abantu abasoba mu mitwalo 80,000 bebakayingira mu lutikko eno, so nga n’abalala ennyiriri zikyali mpanvu balindiridde okumulabako.
Paapa Benedict asuubirwa okuziikibwa ku lunaku lwa Thursday nga 5th January,2023.
Paapa Francis yebazizza Katonda eyakkiriza okuwaayo Paapa Benedict XVI eri klezia.
“We feel in our hearts so much gratitude. Gratitude to God for having given him to the Church and to the world. gratitude to him.” Paapa Francis

Paapa Benedict ku myaka 78 mu 2005 lweyalondebwa olukiiko lwa bakaliddinaali munsi yonna, n’afuuka paapa owa 265.

Yasalawo okulekulira emirimu gy’obwapaapa mu 2013, bweyategeeza nti yali awulira omubiri gunafuye nga takyagiyinza.
Paapa Benedict ng’amannya ge amazaale ye Joseph Ratzinger, oluvannyuma lw’okulondebwa ku bwa paapa yalonda erinnya erya Benedict XVI.
Paapa Benedict XVI yazaalibwa mu 1927, yafiiridde ku myaka 96 egy’obukulu.#