Nabagereka Sylvia Nagginda asabye wabeewo enkolagana eyenjawulo mu bukulembeze obwenono, okukuumira abaana abawala mu masomero, okutangaaza ebiseera byabwe ebyomumaaso.
Nabagereka agamba nti ebikolwa ebityoboola eddembe ly’abaana abawala kusomooza Kunene eri obulamu bwabwe, nga kino kiviiriddeko bangi okufuuka ekisekererwa n’okubonaabona.
Nabagereka abadde mwogezi owenjawulo mu musomo gwokujjuukirirako Omuyivu Sarah Ntiro, omukyaala eyasooka okufuna degree mu University e Makerere.
Nnaabagereka agambye nti awatali kuyambako baana bawala kutuukiriza birubirirwa byabwe ensi tegenda kufuna mirembe.
Nnaabagereka mungeri yeemu alaze obwetaavu bwÓbukulembeze bwénnono obwenjawulo ku ssemazinga wa Africa okukwatira awamu okulwanirira omwana omuwala.
Vice Chancellor wa Makerere University Prof. Barnabus Nawangwe yebazizza Sarah Ntiro okuzibula abaana abawala amaaso nÓkubawa obuvumu nti basobola okusoma.
Dean w’esomero erisomesa ensonga z’ekikula ky’abantu n’abakyala e Makerere University Prof. Sarah ssali , asabye abakyala abeetabye mu musomo guno okutwaala obubaka bwa Nnaabagereka nga bukulu, bakyuuse ekifaananyi kyábaana abawala nábakyala nga Dr. Sarah Nyedwoha Ntiro bweyakola.
Dr. Ntiro ayogerwako ng’omukyala eyasooka okutikkirwa degree.mu University mu mawanga g’obuvanjuba n’amasekkati ga Africa.
Embeera bweyagenda ekyuka abawala bangi beyongera okwekkiririzaamu nebasoma omutuukira ddala ku University era nga bakuguka ne mu masomo agatwalibwanga okuba ag’abalenzi.
Ku matikkira agaaliwo nga 20 February 1959 Dr.Olivia Nabawanda yemuwala omuto eyasooka okutikkirwa PHD mu kubala oba Mathrmatics n’abalala.bangi beyongera okusoma.
Bisakiddwa: Kato Denis