Nnaabagereka Sylvia Nagginda awadde Ssalongo ne Nnalongo Tom Luzze obukadde bwa shs 10 bongere mu mirimu gy’abwe egy’okulima n’okulunda.
Obweyamo buno Nnaabagereka yabukolera mu Ssaza Ssingo ku mukolo gw’olunaku lw’Abakyala mu Buganda nga 30 Kafuumuulampawu 2025 ogwali ku St. Beatrice SSS e Kyankwanzi.
Nnaabagereka yakyala mu maka gabwe ku kyalo Kabutemba e Kiboga, bweyali alambula emirimu egikolebwa abakyala n’Abaami okweyimirizaawo mu nkola y’Amaka amalungi mu kaalo amatendo.
Nnalongo Joan Nnaabagesera ne Ssalongo Tom Luzze, balunzi okuli enkoko, Ente, n’ebirala ssaako okulima ebintu ebyenjawulo byebongerako omutindo nga bakozesa ebintu bya bulijjo ebibeetoolodde nebafunamu kingi.
Ssaalongo Luzze aweesa obuuma ye ne Nnalongo bwebakozesa okwongera omutindo ku byebakola.
Bano baakola Mutima Poultry farm mwebayitira okutunda ebintu byabwe omuli emmere y’enkoko, amagi, ebigimusa, n’enkoko ez’okulunda.
Ssente zino zibakwasiddwa Ssenkulu wa Nnaabagereka Development Foundation, Omuk. Andrew Adrian Mukiibi, Muky. Nankya Ann Elizabeth, n’Omukwanaganya w’Ekikula ky’Abantu era omumyuka w’omuteesiteesi omukulu mu Buganda Omuk. Peter Zaake Ssebayigga, ku mukolo ogubadde ku Bulange. enkya ya leero.
Ng’awaayo ensimbi zino, Omuk Adrian Mukiibi agambye nti Nnaabagereka yasalawo okukwatirako Ssalongo ne Nnalongo Luzze lwakuba nti bannyiikidde nnyo mu kukola ebintu ebiva mu bulimi, bakozesa ebintu ebibeetoolodde okuliisa n’okulabirira ebisolo awaka.
Nnaabagereka bweyalaba nga ababiri bano bakozesezza okumanya kwabwe okuyamba abantu ku kyalo ne mu Ssaza Ssingo, kyamuwa essuubi nti bwabongeramu amaanyi kyakuyamba abantu abalala okusitula embeera zaabwe nga balabira ku Ssaalongo Tom Luzze ne Nnalongo Joan Nnaabagesera.
Ssaalongo Luzze ne Nnalongo Joan Nnaabagesera, bebazizza Nnaabagereka olw’obuwagizi buno ne bategeeza nti baakukozesa ensimbi zaabawadde okwongera ku bungi bw’ebintu byebafulumya ssaako n’okusiba bbuggwe w’akatimba okwetoloola amaka gaabwe okutangira ebisolo by’omunsiko ebibalyako enkoko n’ebisolo bye balunda.
Peter Zzaake Ssebayigga, Omukwanaganya w’Ensonga z’ekikula ky’Abantu era omumyuka w’omuteesiteesi omukulu mu Buganda, ku lwaminisitule agambye nti amaanyi Nnaabagereka g’awadde Ssaalongo ne Nnalongo gagenda kuzimbulukusa emirimu gy’ababiri bano nga mwotwalidde n’Abaana baabwe be baakwasa omulimu gw’okulunda Ente zisobole okulabika obulungi, wabula nga ensonga y’obumu eriwo mu maka gano nayo yasanyusa nnyo Nnaabagereka.
Olunaku lw’Abakyala lwatambulira ku mulamwa, Okwongera amaanyi mu mirimu gy’Abakyala ku lw’enkulaakulana eyannamaddala.