Omwogezi w’okumikolo Mc Kats n’omuyimbi Nina Rose baguze emijoozi gy’okuddukiramu emisinde gy’amazaalibwa ga Kabaka egy’omwaka guno 2022.
Emijoozi bajiguze mu Bulange e Mengo, era gyebasinzidde nebasaba Katikkiro abakkirize babunyise enjiri y’okulwanyisa ekirwadde kya siriimu, nga bagoberera enteekateeka y’Obwakabaka
Emisinde gy’amazaalibwa ga Kabaka omwaka guno, gigenda kutambulira ku mulamwa ogw’okulwanyisa siriimu.
Gyakubaawo nga 03 July,2022, okwetoloola ebitundu bya Buganda ebyenjawulo.
Buli mujoozi gwa shs 15,000/=.
Gitundibwa ku Bulange e Mengo, ku mulyango gwa Masengere ku JP washing bay, ku maduuka ga airtel, n’okuyita ku mpeereza ya airtel money.