
National Insurance Company NIC esitukidde mu mpaka z’okubaka eza East Africa Netball Club Championships 2022.
NIC ekubye club ya KCCA nayo eya Uganda obugoba 44 – 35.
Empaka zino zibadde ziyindira Kamwokya Community Sports Center mu Kampala.
NIC ewangudde ekikopo kino omulungi ogw’okubiri ogw’omudiringanwa.
Club ya Prisons eya Uganda nayo ekutte ekifo kya kusatu mu mpaka zino.
Ate mu kubaka kw’abasajja, era club ya Uganda eya Kampala University ewangudde empaka zino, ate WOB era eya Uganda n’ekwata ekifo kyakusatu.