Omutendesi wa ttiimu y’eggwanga ey’omupiira ogw’okubaka eya She Cranes, Fred Mugerwa alangiridde ttiimu yabazannyi 30 abagenda okutendekebwa okwetegekera empaka z’ensi yonna eza Netball World Cup ez’omwaka guno 2023.
Empaka zino zigenda kuyindira mu kibuga Capetown ekya South Africa mu kisaawe kya Cape Town International Convention Center okuva nga 28 July okutuuka nga 6 August.
Ttiimu eyabazannyi 30 eyitiddwa eriko abazannyi 3 abazannyira emitala wa Mayanja okuli captain Peace Proscovia azannyira mu club ya Storm Surrey eya Bungereza, Mary Nuba azannyira mu club ya Loughborough Lightning eya Bungereza ne Stella Oyella azannyira mu club ya Sirens eya Scotland.
Abazannyi abalala ye Irene Eyalu owa club ya KCCA, Shadia Nassanga owa KCCA, Magret Bagaala owa NIC, Nakibuule Joyce owa Prisons, Flavia Nalule owa Police, Nassaazi Bashira owa Weyonje, Shafie Nalwanja owa KCCA n’abalala.
She Cranes egenda kutandika okutendekebwa ku bbalazanga 17 April ku kisaawe kya Kamwokya Community Center, era mu mpaka zino yatekebwa mu kibinja D ne New Zealand abawangula empaka ezasembayo, Singapore ne Trinidad and Tobago.
Mu kibinja A mulimu Australia, Tonga, Zimbabwe ne Fiji, mu kibinja B mulimu Bungereza, Malawi, Scotland ne Barbados, mu kibinja C mulimu abategesi aba South Africa, Jamaica, Wales ne Sri Lanka.
Uganda egenda kukiika mu mpaka zino omulundi ogw’okusatu ogw’omudiringanwa okuva mu 2015 ate omulundi ogw’okuna okuva mu 1979 lweyasooka okuzetabamu.
Empaka zino zigenda kubeera za mulundi gwa 16 nga zitegekebwa, era guno gugenda kubeera mulundi ogusokedde ddala empaka zino okutegekebwa ku semazinga Africa.