Aba National Environment Management Authority (NEMA) nga bayambibwako police n’abakwasisa b’amateeka mu KCCA bakoze ekikwekweto tokkoowenja nebasengula bonna abeesenza mu lusaalu lwa Lubigi e Busega n’e Bulenga.
Beegattiddwako n’abajaasi ba UPDF, okukakasa nti tewali yeesisiggiririza mu lutobazzi luno.
William Lubuulwa omwogezi wa NEMA agambye nti ebikwekweto bino bigendereddwamu okusissa mu nkola ekiragiro ky’omukulembeze w’eggwanga oky’okugoba bonna abeesenza mu ntobazzi, ng’emu ku ngeri y’okukuumamu obutonde bwensi.
Lubuulwa agambye nti bonna bebagobye mu lutobazzi baasooka kubalaalika.
Agambye nti bagenda kutalaaga eggwanga lyonna okugoba n’okusengula bonna abeesenza mu ntobazzi n’ebibira nga batandikidde Busega.
Olusaalu lwa Lubigi/Mayanja lubadde lwesenzezzaamu abantu ababadde bakoleramu emirimu egy’enjawulo, okuli okukuba amataffaali aga cementi 99, abatunda embaawo/emiti, bamakanika, ppaaka z’emmotoka, n’ebirala.
- Bisakiddwa: Kamulegeya Achileo K