Ndejje University asitukidde mu mpaka z’emizannyo gy’amatendekero agawaggulu egya Inter University Games egy’omwaka 2023 ewangudde emidaali gya zaabu egisinze obungi, emidaali 8.
Empaka zino zibadde za mulundi gwa 19 nga zitegekebwa.
Ez’omwaka guno zibadde ziyindira ku ssetendekero wa UCU e Mukono, zetabiddwamu University 24.
Ndejje University ewangudde empaka zino omulundi ogw’omusanvu ogw’omuddiringanwa, kyokka ku mulundi guno lwe basinze okuleeta ttiimu entono mu mizannyo gino.
Abategesi aba UCU bakutte ekifo kyakubiri n’emidaala gya zaabu 6.
Makerere University ekutte ekifo kyakusatu n’emidaala gya zaabu 5.
Kyambogo University ekutte kyakuna n’emidaala gya zaabu 4.
Victoria University ekutte kya 5 emidaala gya zaabu 3.
Kampala International University ekutte kya 6 n’emidaala gya zaabu 3.
Uganda Martyrs Nkozi ekutte ekifo kya 7 n’emidaala gya zaabu 2.
Busitema ekutte kya 8, MUBS ekutte kya 9 ate Kampala University ekutte kya 10 nabalala.
Soroti University, Kumi University, Mountain of the Moon ne Kabale University tebafunyeyo mudaali gwonna.
Empaka eziddako ez’omulundi ogwa 20 zigenda kutegekebwa mu 2025, wabula akakiiko akateekateeka emizannyo gino tekanalangirira kifo.
Bisakiddwa: Isah Kimbugwe