Abatuuze mu Division ye Ndejje ne Masajja mu gombolola ya Makindye Sabagabo Municipality mu Wakiso, bekubidde enduulu eri bekikwatako mu kitongole ekivunanyizibwa ku Mazzi ekya National Water and Sewerage Cooperation, okubataasa ku babbi abagufudde omuze okusumulula mita z’amazzi zabwe nebakuuliita nazo.
Abatuuze abogeddeko ne Cbs bategeezezza nti basasulira mita zino ensimnbi nnyingi okufuna amazzi amayonjo, nti wabula kibewunyiisa okulaba nga ate zibbibwa oluvunyama lwebanga ttono nga zakateekebwayo
Mungeri yemu balaze okutya nti abatwala mita zaabwe bandiba abamu ku bakozi mu kitongole ky’amazzi, nti kubanga bebavunanyizibwa okusibayo Mita zino ,era basabye abobuyinza okuyingira munsonga eno
Kansala Emmanuel Sempijja Bukayidde atwala obutonde bwensi mu kitundu ategezeeza nti bekubirako omulanga ku Police wabula tebanafunanga kuyambibwa olwa bakulu okwesamba ensonga eno.
Bisakiddwa Ssebuliba Julius