Akakiiko ka government akavunanyizibwa ku by’emizannyo mu Uganda aka National Council of Sports, mu butongole karangiridde nti kasazzizaamu enkolagana yaako n’ekibiina ekiddukanya omupiira gw’okubaka ekya Uganda Netball Federation.
Mu bbaluwa etekeddwako omukono gwa ssentebe wa National Council of Sports, Ambrose Tashobya, ekakasizza okusazibwamu kwa certificate ey’omupiira ogw’okubaka, era nti government tegenda kuddamu kuwaayo buwagizi bwonna eri muzannyo gw’okubaka.
Okusazibwamu kw’enkolagana eno kwesigamiziddwa ku nsonga z’obukulembeze ezitali nambulukufu mu Uganda Netball Federation.
President waayo Babirye Kityo Sarah yayimirizibwa ku bukulembeze buno, oluvanyuma lwa minister w’ebyenjigiriza n’ebyemizannyo Janat Kataha Museveni okumulagira okugira nga addako ebbali anonyerezebwako ku bibadde bitatambula bulungi mu kibiina.
Mu kiseera kino entebe ya president erimu mumyukawe Brig Gen Flavia Byekwaso newankubadde naye talima kambugu ne Babirye Kityo Sarah.
Kyokka National Council of Sports egenze okusazaamu enkolagana yaayo ne Uganda Netball Federation nga alipoota enonyereza ku president Babirye Kityo Sarah tenafuluma.
Mu ngeri yeemu Uganda Netball Federation yaddukidde mu kkooti enkulu etaawulula enkaayana n’ewawabira National Council of Sports okugiwaayiiriza nti ku nsonga ezenjawulo, era netegeeza nti terina nabuyinza kusazaamu license yaabwe.
Bisakiddwa: Issah Kimbugwe