Abalamazi okuva mu ssaza lya eklezia erye Lugazi batuuse e Namugongo, nga bebagenda okukulemberamu ebijaguzo by’olunaku lw’abajulizi olw’omwaka guno 2025.
Okuva e mu ssaza e Lugazi basimbudde mu bibinja 3, okuli abasimbudde e Lugazi, Nkokonjeru ne Naggalama nga bakulembeddwamu Bishop Christopher Kakooza, olwo nebayiingira Namugongo mu mizira, mu kukooloobya ennyimba z’abajulizi n’okutendereza omutonzi.
Babadde bakulembeddwa abasirikale.ba police, okubawa obukuumi n’okubayambako obutakoonebwa mmotoka.
Mu ngeri yeemu eklezia eyimbye mmisa y’okusabira eyaliko president wa Tanzania, Mwalimu Julius Kambarage Nyerere, mu mmisa ebadde mu Uganda Martyrs Minor Basilica e Namugongo.
Okuyimba mmisa eno, kukulembeddwamu, Fr Anthony okuva e Tanzania, era ngoono aliko ekibinja kyabalamaze kyeyatambudde nakyo okuva e Tanzania.
Hellen Nyerere, muzzukulu wa Julius Nyerere kulwa family, atenderezza banna Uganda ne bannansi ba Tanzaia, abalamaze naabeetabye mu mmisa yokusabira jjajjawe, nti bamulaze omukwano.
Enteekateeka yokulamaga nokutegeka mmisa ya Julius Nyerere, yatandika mu mwaka gwa 2009, era nga buli mwaka abalamazi okuva e Tanzanian batambuza ebigere okujja e Uganda e Namugongo okwetaba mu kusaba kuno okumujukira.
Nyerere, eyali omukirisitu nnamige yeyali president wa Tanzania nga yafa nga 14 October,1999 yafiira ku myaka 77.
Mmisa y’okusabira Julius Nyerere, yatandikibwawo oluvanyuma lwa paapa Benedict XVI okulangirira nti Nyerere yali muwereza wa Katonda ddala asanidde okujjukirwa era nga kino yakikola 13 May, 2005.#