Abakungu mu mukago gwa Non Alligned Movement -NAM batudde ku woteeri ya Speke Reasort e Munyonyo, okwekeneenya ekiwandiiko ekirimu ebyasalibwaawo mu lukungaana lwabwe olwasembayo mu October wa 2019 mu Kibuga Baku mu Azabaijan
Olukungaana lwa NAM olw’o mulundi 19 lutandiise era abakiise abatebyemu okuva Mawanga omuli Colombia ,Burkinafaso ,Brunei ,Afaganistan , Malaysia , Egypt ,Algeria , United Araba Emirates nabalala.
Batandikidde mu kuddamu okwetegereza ebyakanyizibwako mu lutuula lwa NAM olwasembayo mu kibuga Baku , ng’o bukiiko okubadde aka Political Committee ne Economic and Social committee bwebuteredwawo okwetegereza ensonga .
Ensonga ezitunuuliddwa mulimu ebyenfuna n’enkulakulana z’amawanga , eby’obulamu , obwavu , entalo n’ebizibu ebirala ebisomooza ensi yonna.
Mu mbeera yemu wakubeerawo okukubaganaya ebirowoozo wakati waba Minister abavunanyizibwa ku nsonga za mawanga malala.
Mu ntekateeka eno, abakulembeeze b’amawanga abasoba mu 40 basuubirwa okwetaba mu lukungaana lwa NAM olwawamu, era basuubirwa okutuuka mu ggwanga esaawa yonna.
Minister wa Uganda ow’ensonga z’amawanga amalala Gen Abu baker Jejje Odongo asinzidde mu lukungaana lwa NAM e Munyonyo, nagamba a mawanga mangi gali mu bizubu nkumu omuli obwavu , amabanja n’ebirala ebizingamizza enkulakulana.
Gen Odongo awanjagidde amawanga mu mukago gwa NAM okukozesa olukungaana luno okugonjoola ebizibu byago.
Mnister w’amawulire n’okulungamya eggwanga Dr Chris Baryomunsi ategeezza nti Uganda yakuganyulwa mu nkugaana zino okuli olwamawanga agatalina ludda ku by’obufuzi by’Ensi –NAM n’olwa G77 + China
Bisakiddwa: Julius Ssebuliba