President wa Uganda Gen Yoweri Kaguta Museven Tibuhaburwa agguddewo olukungaana lw’abakulembeze b’amawanga ga Nnampawengwa olwa NAM (Non Alligned Movement).
Olukungaana luno olw’omulundi ogwe 19 luyindira mu Speke Resort Munyonyo mu Kampala.
Museven acoomedde amawanga g’abazungu agefuula agalwaniira edembe ly`obuntu n’enkola egoberera ssemateeka, nti kyokka nga gegakulemberamu okubityoboola nga geyingiza mu nsonga zeby`obufuzi n`okusalirawo amawanga agakyakula.
Museven agambye nti newankubadde omulembe gw’abafuzi bamatwale gwagwawo dda, naye ate amawanga g’abazungu mangi gakyayagala okuwa ebiragiro n`okutegerera amawanga agakyakula.
Museven abuulidde abakulembeze b’amawanga g’abazungu nti kekadde gabaggyeko efugabbi.
Agambye amawanga agakyakula kyegaagala bwe butale bw’ebintu byabwe mu mawanga g’abazungu ne ba musiga nsimbi, sso ssi kugafuga n’okugawa ebiragiro
Museven abasabye nti Omukago gwa NAM, amaanyi gwandisiinze kugassa ku nsonga ezikulakulanya amawanga gabwe, obwentegereze, okwogeza edoboozi eryawamu, enkola eza technologiya, okwongera omutindo ku bintu bye bakola, okweggulirawo obutale ewatali bu kwakulizo, nensonga endala ezibagasa ng`omukago.
Abakulembeze b’amawanga batandise okukubaganya ebirowoozo ku nsonga ezenjawulo, wabula ng’abamawulire balagiddwa okufuluma ekisenge omuteesezebwa.
Olukungaana luno olwa NAM olumaze wiiki namba lukomekkerezebwa nga 20 January,2024.
Bisakiddwa: Musisi John