Poliisi e Kenya eyongedde okumyumyula eby’okwerinda byayo ku nsalo eyawula Uganda ku Kenya e Malaba, nga beekengera abatujju.
Kiddiridde obulumbaganyi bwa bbomu obwakoleddwa ku Uganda ku ntandikwa ya ssabbiiti eno ne mufiiramu abantu musanvu, n’abalala bangi nebagenda n’ebisago.Omuduumizi wa poliisi y’e Bungoma Musyoki Mutungi agambye nti babadde tebasobola kuzingira mikono mabega kubanga ekigwa e Uganda n’e Kenya kisobola okugwayo.Kino kireeseewo akasoobo mu by’entambula olw’okwekebejja buli mmotoka n’abantu abayingira n’okufuluma eggwanga.E Kenya eyo jjuuzi yatolokayo abatujju kyokka Mutungi agambye bazzeemu ne babakwata.