Erinnya Maria Gorret Nabbuto lyavuga nnyo mu mwaka gwa 1999 ku mpewo za CBS radio eyakulemberamu kawefube w’okukunga abantu okusonda ensimbi okumutwala mu Buyindi okumulongoosa ekituli ekyamuli ku mutima.
Maria Gorret Nabbuto kakano yamalirizza emisomo gye ku mutendera gwa Degree mu Clinical Medicine and Public Health mu Ssetendekero wa Kampala International University Ishaka Bushenyi.
Ayali omuwandiisi omukulu mu bulabirizi bwe Namirembe Rev Canon Nelson Kaweesa nga yeyawandiikira Cbs radio ebbaluwa mu mwaka gwa 1999 okunoonya obuyambi bwa Nabbuto, atenderezza radio y’Omutanda Cbs Fm obutakoma ku kyassaawo programme ezisomesa n’okuzimba abantu , wabula eyamba butereevu n’abantu abalina obwetaavu.
Asoomozezza gavumenti okukomyaokwesulirayo ogwanagamba nga waliwo abantu kinomu abalina eddwadde ezetaaga okujjanjabira ebweru wa mawanga netabayamba, kyokka nga erina obuvunanyizibwa ku buli munnansi.
Canon Kawesa abadde akulembeddemu okusaba kw’okwebaza Katonda okusobozesa Nabbuto okumaliriza emisomo gye ku mikolo egibadde e Kyengera.
Agambye nti abantu bangi mu ggwanga lino bafa olw’obutaba nabusobozi bugenda mu mawanga g’ebweru okufuna obujjanjabi obusaanidde, kwekuwanjagira gavumenti okukoma okwesulirayo ogwanagamba ku nsonga ezikwata ku by’obulamu nti kubanga abantu ababeera n’ebirwadde ebiringa eby’amaanyi basobola okuwona nebakolera eggwanga lino ebintu by’omugaso bingi.
Ayaliko minister webyobulamu mu bwa Kabaka Owek Dr Robert Ssebunnya nga yalabiridde Nabbuto okuva mu butobwe agamba nti obulamu bwa Nabbuto buliwo lwa Radio Cbs eyakunga abantu okuyita mu nkola ezenjawulo okuleeta Ssente ezajjanjaba ezaamujanjaba.
Maama wa Maria Gorretti Nabbuto yebaziza bonna abamuyambyeko okufuula muwala we kyali kati, naddala eky’okumuwa obujanjabi nabeera mulamu n’amalako emisomogye.
Omukwanaganya w’ensonga z’abawuliriza CBS FM Godfrey Male Busuulwa yakiikiridde CBS ku mukolo guno.