President Yoweri Kaguta Museveni ayongedde okulabula banna byamizannyo okukulembeza ng’empisa, okutya Katonda, okwewala ebitamiiza n’ebiragalalagala ebirala, okwewala obwamalaaya n’okwerwanyalwanya nti lwebanaafuna mu kitone kyabwe.
Abadde asisinkanye bannabyamizannyo okuli abeetaba mu World Athletics Championships mu Budapest, Hungary, naaba Federation of East Africa Secondary School Sports Association (FEASSSA) egyali mu kibuga Kigali ekya Rwanda.
President Museven agambye nti ebyemizannyo tebyesigamye ku kitone kyokka wabula n’enneeyisa y’omuntu abikola kikulu nnyo.
Museveni asabye abakulira ebibiina by’emizannyo ebyenjawulo okwongera okusomesa bannansi ebirungi ebiri mu by’emizannyo naddala okwefuniramu ensimbi, ate bazeeyambise okwekulaakulanya.#