Abantu abawerako naddala abasuubuzi Bakonkomalidde ku mwalo e Lutoboka, emmeeri MV Kalangala ebadde erina okubasaabaza bweremereddwa okuva e kalangala okudda e Ntebbe.
Abaddukanya emmeeri bagumizza abantu nti efunyemu ekizibu mu byuma byayo, wabula kigenda kukolebwako eddamu okubasaabaza kinnawadda.
Obumeeri obutonotono okuli MV Blovad ne MV Natalie zireeteddwa neziyamba okusaabazaako abantu abamu.
Bisakiddwa: Henry Lubuulwa