Abayizi 580 bebatikkiddwa ku ssettendekero wa Muteesa I Royal University (M1RU)abawala bakize ku balenzi obungi babadde 363 ate abalenzi 217.
Gano ge matikkira ga University eno ag’omulundi ogwe 11, gabadde ku kitebe ekikulu e Kirumba Masaka City.
Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga akulisizza abayizi abamalirizza emisomo gyabwe ku mutendera gwa Degree Diploma ne Certificate era nabagamba nti kyebatuuseko eyo ntandikwa butandikwa.
Chancellor wa M1RU Omulamuzi wa kkooti y’ensi yonna Lady Justice Julia Ssebutinde yeyanzizza Ssabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi 11 olw’okulengera ewala natandikawa University eyambye Obwakabaka.

Ssebutinde era yebazizza abazadde abeerekerezza nebaweerera abayizi nagamba nti kuba Kwewaayo, n’asaba abayizi abamalirizza emisomo nti gyebanagenda okukola bakuume empisa n’obuntubulamu bye bafunye mu M1RU.

Minister w’ebyenjigiriza, ebyobulamu ne office ya Nnabagereka Owek. Coltilda Nakate Kikomeko alabudde abayizi abamalirizza okusoma okubeeera abegendereza eri obulwadde bwa Siriimu nga babwewala naddalq nga bekebeza n’abantu bebaganza okumanya webayimiridde mu bulamu.
Amyuka Senkulu wa M1RU, Prof. Vicent Kakembo agambye nti mu kutuukiriza obuwabuzi n’amagezi ebyabaweebwa Katikkiro Charles Peter Mayiga ne Chancellor Justice Julia Ssebutinde okutandikawo amasomo ga Diguli mu byobulimi, endagaano ey’entegeragana yassibwako emikono wakati WA M1RU n’ekitongole ky’obulimi ekya National Agricultural Research Organisation (NARO).
Basuubira enkolagana mu bintu ebitali bimu, nagamba nti kino kijja kusobozesa M1RU okutandikawo amasomo ag’ebyobulimi amalama.ĺ0
Sentebe w’olukiiko olukulembera University Dr. Mary Gorrett Nakabugo asabye abakozesa bawe abayizi abavudde ku M1RU emirimu, nti kuba bafunye obuyigirize n’obukugu obwetaagisa.
Abayizi abagambye nti gyebagenda siwangu wabula abasabye okwekkiririzaamu bajja kuwangula.
Bisakiddwa: Tomusange Kayinja