Akakiiko akavunaanyizibwa ku by’enjigiriza mu matendekero aga waggulu, National Council for Higher Education kakkiriza era nekawa Muteesa I Royal University Charter egikkiriza okugaba ebbaluwa ez’emitendera gy’ebyenjigiriza gyonna.
Kino kitukiddwako oluvannyuma lw’okwekenneenya n’okugezesa ebisaanyizo byonna, Ssettendekero by’eteekeddwa okubeera nabyo.
Okusinziira ku bbaluwa ebaddeko Omukono gwa Prof. Mary J. N. Okwakol ssenkulu wa National Council for Higher education kirqmbikiddwa nti okuwa Muteesa Charter kyasaliddwawo mu lutuula lwólukiiko olw’omulundi ogwa 68th olwatuula nga 20th omwezi guno ogwa January 2023.#