Omumyuka w’omukulembeze w’eggwanga lya Equatorial Guinea era mutabani wa president w’eggwanga eryo, Teodorin Obiang alagidde eb’ebyokwerinda mu bwangu obwekitalo okukwata muganda we, eyatunze ennyonyi y’eggwanga mu Spain n’eyeekomya ensimbi zonna.
Vice president Teodorin abadde omukaawu ebyensusso, asabye kitabwe era omukulembeze w’eggwanga eryo afuumuule Ruslan Obiang Nsue ku kifo ky’omumyuka wa ssenkulu wa campuni y’ennyonyi y’eggwanga eya Ceiba International Airline, kyagamba nti yandiba nga yakozesezza obuyinza bwe n’akola ebyambyone.
Eggwanga lya Equatorial Guinea lijjudde ggoggolimbo agambibwa okuviira ddala ku president Teodoro Obiang akalakase eggwanga lino okuva mu 1979.
Mu 2021, kkooti mu France zaakaliga omumyuka wa president Teodorin, bweyassibwako ekkoligo lya myaka esatu n’okuweesebwa engassi ya nsimbi za Euro obukadde 30 bweyasingisibwa emisango gy’obukenuzi.
Omukulu yagula amatiribona g’ebizimbe mu France n’ebyobugagga ebirala ebyokwejalabya ng’akozesa ensimbi z’omuwi w’omusolo.