Abakristu ba St Yoanna Maria Muzeeyi Nabweru Bwaise Parish basiimye abakirizza ababadde ab’enkizo mu Eklezia yaabwe.
Bakulembeddwa Bbaale Jackson Ssabakirisitu w’akabondo ka St Bruno.
Bbaale asabye abakirisitu mu ggwanga bettanire okusiima abantu abasukkulumye ku bannaabwe mu kuweereza Omukama nga bakyali balamu.
Ab’enju y’Omugenzi Mmereewooma Semakula,Kiberu Micheal,Nakankya Ruth baweereddwa ebirabo.
Omulangira Eria Musanje Muwaguza yeyawaayo ekifo okwazimbwa Eklezia.
Rev Fr. Timothy Matovu naabadde omugenyi obwenjawulo ng’era mukugu mu by’ettaka Dr Florence Nambooze Bbaale bebazizza abeesubya ensimbi z’ettaka lye Nabweru kinnya nampindi ne Kampala, nebaliwaayo likole emirimu gy’Omukama.
Omulangira Muwaguza ow’emyaka 90 agamba nti ekimu kubyamuweesaayo ettaka kuzimbweko eklezia w’omukama, yali yebaza Katonda olw’okumutaliza ku mulembe gwa Amin, nti kubanga banywanyibe beyabeeranga nabo wamu n’aboluganda abasinga baatemulwa.
Muwaguza akulukusizza n’amaziga oluvunnyuma lw’okukwasibwa ekirabo ekimusiima, ng’ajjukidde mikwanogye bwebaatandika eklezia ye Nabweru omwali nemukyalawe abaamugendako.
Asiimye ebikolwa kya Bbale Jackson Gonzaga nebanne era naabasa okukisomesa nekubalala.
Muwaguza yali munnabyangigiriza ngaweerereza ku Makerere University, Kyambogo nemitala w’amayanja kati yawummula.
Bisakiddwa : Tamalen George William