President Yoweri Kaguta Museveni Tibuhaburwa, avumiridde obwassemugayaavu obuli mu ba RDC abalemererwa okutuukiriza obuvunaanyizibwa bwabwe, olwo essira nebalissa mukulwanyisa bannabyabufuzi abavuganya government.
Obwennyamivu buno Museveni yabulagidde mu lukiiko lw’akakiiko ka NRM ak’okuntikko CEC n’anenya nnyo ssaabaminisita Robinah Nabbanja olw’okulemererwa omulungamya ba RDC ku kyebateekeddwa okukola.
Museveni eyabadde tasalikako musale yategeezezza nti office ya RDC teteekeddwa kussibwamu abo abalemereddwa mu by’obufuzi oba bebawangudde mu kalulu, wabula eteekeddwa okussibwamu omuntu asobola okutambulira ku miramwa gy’ekibiina naddala okukulaakulanya abantu.
Tibuhaburwa yagambye nti omulimu omukulu ogwa RDC kwekubeera entabiro era omukutu gw’enkulaakulana mu bitundu gyebaba basindikiddwa.
Ssentebe wa NRM mu ngeri yeemu akikkaatirizza nti essaawa etuuse okukwata ku nkoona ba RDC abeenoonyeza ebyabwe olwo nebavumaganya government.
Omukulu era yawadde ekiragiro nti tekikyakkirizibwa RDC kulekulira milimugwe mbu avuganye ku kifo kyonna eky’ebyobufuzi.
Mu lukiiko lwa CEC luno olwatudde mu maka g’obwapresidenti e Ntebe, ssaabalwanyi Museveni yalagidde Nabbanja obutakkiriza bannabyabufuzi n’abo abeeyita abanene okumuperereza abeeko abantu baawa ebifo byba RDC kyokka nga tebalina bisaanyizo.
Museveni agamba nti ba RDC naddala mu kisanja kino bateekeddwa okukunga bannansi okwenyigira mu by’enkulaakulana nga Parish Model basobole okuva mu bwavu obubayonka obutaaba.
Mu lukiiko lwerumu kyasaliddwawo nti mu May w’omwaka ogujja ekibiina ky’akulonda abukulembeze bw’okubyalo nga enteekateeka eno esuubira okuwemmenta obuwumbi bwa shilling 40.