Ebyentambula bisannyaladde ku kyalo Ttamu ku luguudo oluva e Kampala okudda e Mityana, abantu abazze okulaba omuvubuka omuyiiya ng’agezesa ennyonyi magezi maganda beyiye mu luguudo wakati, oluvanyuma lwokutegezebwa nti abakulembeze bamugaanye okugigezesa.
Lubega Maluwa amaze ebbanga lya myezi esatu ng’aweesa ennyonyi ye, era ng’abadde yasuubiza abantu nti wakujambusa mu bwengula bwa Uganda nga 13 November,2023.
Wabula yarabidde awo ng’abakulu bamuyita ku police nebamulagira obutabaako kyakola okutuusa ng’abakugu mu byennyonyi bamaze okwekebejja obuyiiya bwe.
Abatuuze ababadde bakungaanye olukiwulodde bavudde mu mbeera ne bakyomera abakulu okurinnya eggere mu nteekateeka y’omwana wabwe, nga bwebabalangira okukotoggera bannansi abaliko obuyiiya bwebakoze nti mu kifo ky’okubayamba okubukulaakulanya.
Maluwa Lubega nnanyini buyiiya buno abadde omukakkamu asabye abakulu mu government nti bamuyambeko okutuukiriza obuyiiya buno ekifo ky’okumuteerawo emiziziko.
Okusinziira ku amyuka omubaka wa president e Mityana Prossy Mwanjuzi, omuvubuka ono yabawandiikidde ng’abategeeza ku nteekateeka eno, nti kyokka nebamusaba agumiikirize nga batya nti ennyonyi eno eyinza okutuusa obulabe ku bantu.
Bisakiddwa: James Kaana Ssebuguzi