Ekigo kya klezia ekya St.Joseph Lweza mu ssaza ekkulu erya Kampala kijaguzza emyaka 51 bukyanga kitondebwawo.
Emikolo gikulembeddwamu Mgsr Charles Kasibante vicar General wa Kampala, ng’ayambibwako bwanamukulu w’ekifo Rev. Fr. Emmanuel Ssewannyana
Msgr Kasibante asinzidde ku mikolo gino n’avumirira enkozesa y’Emitimbagano etali yaavunaanyizibwa eyeefuze ensi.
Agambye nti enkozesa y’Emitimbagano ereeteddwa technologia akyeyongera okukula buli kadde.m n’awa abantu amagezi okugikozesa bekulakulanye sso ssi kutyoboola balala.
Agambye nti enkozesa embi eya buli kintu enyigiriza nnyo obulamu bw’abantu, nga bwekiri ku bakozesa obubi emitimbagano ekitaddewo embeera etali ya butebenkevu.
Omwami w’essaza lya Busiro Ssebwaana Charles Kiberu Kisiriinza akiikiridde Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga, agambye nti enkuza y’abaana embi yeviiriddeko eggwanga okubaamu abantu abasiwuufu b’empisa naasaba abazadde okuddamu okutuuza abaana bababuulirire.
.Fredrick Ngoobi Gume nga ye minister omubeezi ow’Obweegassi yeebazizza eddiini zonna n’abakulembeze baazo olw’okusibira ekikookolo Obugwenyufu bw’obufumbo obw’ebikukujju,naasaba abavubuka okwenywereza ku Mukama.
Omubaka wa parliament owa Makindye Ssabagabo David Sserukenya asinzidde ku mukolo guno, naanenya government olw’obutawanga bannansi alipoota zimatiza ku buzzi bw’emisango egyenjawulo mu ggwanga, ekireetawo okubuusabuusa enkola yaayo ey’emirimu.
Bisakiddwa: Kato Denis