Ekibiina ekiddukanya omupiira mu Uganda ekya FUFA, kikakasizza nti Abdallah Mubiru ayabadde alondeddwa ku mulimu gw’omumyuka w’omutendesi owa ttiimu y’abakazi eya Crested Cranes, nti agaanye okutwala obuvunanyizibwa buno era batandise okunoonya omutendesi omulala ayinza okukola omulimu guno.
FUFA egamba nti nga tebanalangirira Abdallah Mubiru ku mulimu guno baasooka kukaanya naye nga omuntu, kyokka oluvanyuma ababulidde oluvanyuma nti olw’ensonga ze ng’omuntu asazeewo okuleka obuvunanyizibwa buno.
FUFA era ekakasizza nti Ayub Khalifah Kiyingi yakyasigaddewo okugira nga akola omulimu guno, nga ayambibwako Olivia Mbekeka ne Billy Kigundu ababadde balondeddwa ne Abdallah Mubiru.
FUFA kati ezeemu okunoonya omutendesi ow’okuntiko n’omumyukawe.
Crested Cranes mu kiseera kino eri munkambi ku FUFA Technical Center e Njeru okwetegekera empaka ez’okusunsulamu ensi ezinaakiika mu Women Africa Cup of Nations ez’omwaka ogujja 2024.
Mu mpaka zino Crested Cranes egenda kuzannya ne Algeria omupiira ogw’oluzannya olusooka nga 20 omwezi guno ku FUFA Technical Center, ate okuddingana kubeerewo nga 26 September,2026 mu kibuga Oran ekya Algeria.
Omuwanguzi wakati wa Uganda ne Algeria wakuzannya n’omuwanguzi wakati wa Burundi ne Ethiopia ku mutendera ogusembayo ogw’okusunsulamu.
Bisakiddwa: Isah Kimbugwe